Jeremiah 52:24-27

24 aOmuduumizi w’abakuumi n’atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona owookubiri n’abaggazi abasatu nga basibe. 25Abo abaali bakyali mu kibuga, n’atwalako omukungu akulira eggye, n’abawi b’amagezi omusanvu. N’atwala n’omuwandiisi eyali omukungu omukulu avunaanyizibwa okuwandiika abayingira mu magye ne basajja be nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 26 bNebuzaladaani omuduumizi n’abatwala bonna n’abaleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libuna. 27 cKabaka n’abattira eyo e Libuna, mu Kamasi.

Bw’atyo Yuda n’awaŋŋangusibwa, okuva mu nsi ya boobwe.

Copyright information for LugEEEE